Psalms 45:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka ayanaamiridde olw'obubalagavu bwo; muvunnamire kubanga ye mukama wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwala w’e Ttuulo alijja n’ekirabo, abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu abe Ttuulo balinnoonya okusiimibwa nga bakuwa ebirabo; Era n'abagagga ab'omu bantu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'e Tiiro balikuleetera ebirabo, n'abagagga balyettanira okusiimibwa gy'oli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omuwala wa Ttuulo alijja n'ekirabo; Era n'abagagga ab'omu bantu balikwegayirira ekisa kyo.