Psalms 45:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwala wa Tiiro azze n'ebirabo, abagagga mu ggwanga balikuvujjirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye, ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
baleeta eby'obugagga ebya buli ngeri. Omuwala wa kabaka ali munda mu lubiri, Ekyambalo kye kikoleddwa mu zaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu lubiri omumbejja ekitiibwa kye kinene. Ekyambalo kye kya zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuwala wa kabaka munda mu lubiri wa kitiibwa kyereere: Olugoye lwe lukoleddwamu ne zaabu.