Psalms 45:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwala wa kabaka wa kitiibwa eyo gyali munda, emivuluya gye mutobekeddwamu zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi. Emperekeze ze zimuwerekerako; bonna ne bajja gy’oli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaaleetebwa eri kabaka ng'ayambadde ebyambalo eby'amabala; Ne bawala banne embeerera, Nabo banaaleetebwa gy'oli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bamutwalayo ewa kabaka mu byambalo ebiteŋŋeenya. Emperekeze ezigoberera nazo zigenda wa kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Anaaleetebwa eri kabaka ng'ayambadde eby'amabala: Bawala banne abamugoberera Banaaleetebwa gy'oli.