Psalms 45:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baleetebwa n'essanyu n'okujaganya; babayingiza mu lubiri lwa kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe, olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kifo kya bakitaawo, wanaabeera batabani bo, B'olifuula abalangira mu nsi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaana bo balisikira bajjajjaabo n'obafuula bakabaka, bafugenga ensi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awali bakitaawo wanaabeeranga abaana bo, B'olifuula abalangira mu nsi zonna.