Psalms 45:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwange gubooze ekirowoozo ekirungi nga ntontomera kabaka ekitontome kyange; olulimi lwange kkalaamu ya muwandiisi omukugu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi; n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa. Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe osinga abaana b'abantu obulungi; Ekisa kifukiddwa ku mimwa gyo; Katonda kyeyava akuwa omukisa emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Walungiwa okukira abalala, oyogeza kisa. Katonda yakuwa omukisa, era gwa nnaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe osinga abaana b'abantu obulungi; Ekisa kifukiddwa ku mimwa gyo: Katonda kyeyava akuwa omukisa emirembe gyonna.