Psalms 45:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kitiibwa kyo eky'obuwanguzi weebagale, ku lw'amazima, obukkakkamu n'obutuukirivu; leka omukono gwo ogwa ddyo gulage eby'entiisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka; afuge amawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusaale bwo bwa bwogi; Buli mu mutima gw'abalabe ba kabaka; abantu bagwa wansi mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusaale bwo bwa bwogi, bufumita emitima gy'abalabe bo. Amawanga gakuvuunamira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusaale bwo bwa bwogi; Amawanga gagwa wansi mu maaso go; Buli mu mutima gw'abalabe ba kabaka.