Psalms 45:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusaale bwo obwogi busoye mu mitima gy'abalabe ba kabaka; amawanga geeyale wansi w'ebigere byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera; n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Entebe yo, ey'o bwa Katonda, ya lubeerera emirembe gyonna; Omuggo ogw'obutuukirivu gwe muggo gwa bwenkanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Entebe yo ey'obwakabaka, ayi Katonda, ebeerawo emirembe n'emirembe. N'obwakabaka bwo obufugisa bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Entebe yo, ai Katonda, ya lubeerera emirembe gyonna: Omuggo ogw'obutuukirivu gwe muggo ogw'obwakabaka bwo.