Psalms 45:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnamulondo yo, ayi Katonda, ya mirembe na mirembe; ddamula w'obwakabaka bwo ddamula wa butuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi; noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi: N'olwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akuteekako Amafuta ag'essanyu okusinga banno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wayagala obutuukirivu, n'okyawa ekibi. Katonda, Katonda wo, kyeyava akufukako omuzigo okukuwa ekitiibwa, n'osanyuka okusinga banno.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wayagala obutuukirivu, wakyawa obubi: Katonda, Katonda wo, kyavudde akuteekako Amafuta ag'essanyu okusinga banno.