Psalms 45:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyagala obutuukirivu n'okyawa obubi, Katonda nno, Katonda wo, kyeyava akusiiga omuzigo ogw'essanyu ng'akukiza banno.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya. Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza mu mbiri zo ez’amasanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyambalo byo byonna biwunya kaloosa ka mooli ne akaloosi ne kasiya; Okuva mu mbiri ez'amasanga ebivuga eby'enkoba bikusanyusizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyambalo byo biwunya kawoowo ka mirra, n'aka alowe, n'aka kasiya. Mu mbiri ezitimbiddwa amasanga osanyusibwa ennanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyambalo byo byonna biwunya kaloosa mooli ne akaloosi ne kasiya; Mu mayumba ag'amasanga ennanga zikusanyusizza.