Psalms 45:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyambalo byo byonna biwunya akawoowo ka mirra, ekigaji ne kassiya; ebivuga eby'enkoba okuva mu mbiri ez'amasanga bikusanyusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu bakyala bo mulimu abambejja; namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abambejja bali mu bakyala bo ab'ekitiibwa; Ku mukono gwo ogwa ddyo kaddulubaale ayimirira ng'ayambadde zaabu ya Ofiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bakyala abakuwembejja temubuzeemu bambejja. Nnamasole ayambadde ebya zaabu ebiteŋŋeenya. Akuyimiridde awo ku ludda lwo olwa ddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu bakyala bo mulimu abambejja: Ku mukono gwo ogwa ddyo kaddulubaale ayimirira ng'ayambadde zaabu ya Ofiri.