Psalms 46:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waliyo omugga n'emyala gyagwo ebisanyusa ekibuga kya Katonda, ekifo ekitukuvu ekisulo ky'Ali Waggulu Ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera. Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda ali wakati waakyo, tekiisagaasaganenga; Katonda anaakibeeranga, anaakibeeranga enkya mu matulutulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda ali mu kibuga ekyo, tekirinyeenyezebwa. Anaakiyambanga ng'obudde tebunnalaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda ali wakati waakyo; tekiisagaasaganenga: Katonda anaakibeeranga, anaakibeeranga enkya mu matulutulu.