Psalms 47:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yatulondera obusika bwaffe, ekitiibwa kya Yakobo gwe yayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda alinnye waggulu ng’atenderezebwa mu maloboozi ag’essanyu eringi. Mukama alinnye nga n’amakondeere gamuvugira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda alinnye n'okwogerera waggulu, Mukama alinnye n'eddoboozi ery'akagombe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda alinnye waggulu ng'abamutenda basaakaanya. Mukama atumbidde waggulu nga bamufuuyira eŋŋombe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda alinaye n'okwogerera waggulu, Mukama alinnye n'eddoboozi ery'akagombe.