Psalms 48:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tujjukira, ayi Katonda, ekisa kyo, munda mu Kiggwa kyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erinnya lyo nga bwe liri ekkulu, Ayi Katonda, bw’otyo bw’otenderezebwa mu nsi yonna. Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obuwanguzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'erinnya lyo bwe liri, Ayi Katonda, Ettendo lyo bwe liri bwe lityo okutuusa enkomerero y'ensi. Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omanyiddwa mu nsi yonna, ayi Katonda, otenderezebwa buli wantu, ofugisa bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'erinnya lyo bwe liri, ai Katonda, Ettendo lyo bwe liri bwe lityo okutuusa enkomerero y'ensi: Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu.