Psalms 48:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'erinnya lyo bwe liri, ayi Katonda, n'ettendo lyo bwe lityo, lituuka ku nkingi z'ensi. Omukono gwo ogwa ddyo gujjudde obutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sanyuka gwe Sayuuni, musanyuke mmwe ebibuga bya Yuda; kubanga Katonda alamula bya nsonga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olusozi Sayuuni lusanyuke! Abawala ba Yuda bajaguze, Olw'emisango gyo!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'oku Lusozi Siyooni basanyuke abantu b'omu Buyudaaya bajaganye, kubanga osala bulungi ensonga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olusozi Sayuuni lusanyuke, Abawala ba Yuda bajaguze, Olw'emisango gyo.