Psalms 48:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama mukulu, asaanidde nnyo okutendebwa mu kibuga kya Katonda waffe, ku lusozi lwe olutukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sayuuni lwe lusozi lwe olulungi olugulumivu, olusanyusa ensi yonna. Ku ntikko Zafoni kwe kuli ekibuga kya Kabaka Omukulu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo, Lye ssanyu ery'ensi yonna, ku njuyi ez'obukiikakkono, Ekibuga kya kabaka omukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Siyooni lusozi lulungi mu kugulumira kwalwo. Ekibuga kya kabaka omukulu, kisanyusa ensi yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo, Lye ssanyu ery'ensi yonna, ku njuyi ez'obukiika obwa kkono, Ekibuga kya kabaka omukulu.