Psalms 48:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'empewo y'ebuvanjuba watokomola amaato g'e Tarusisi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo bye twawuliranga obuwulizi, kaakano tubirabye mu kibuga kya Mukama ow’Eggye, mu kibuga kya Katonda waffe, kyalinywereza ddala emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe twawuliranga, era bwe twalaba bwe tutyo Mu kibuga kya Mukama ow'eggye, mu kibuga kya Katonda waffe, Katonda anaakinywezanga emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bye twawuliranga, era bye byo bye tulabye, mu kibuga kya Katonda waffe, Mukama Nnannyinimagye ky'akuuma emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe twawuliranga, bwe twalaba bwe tutyo mu kibuga kya Mukama w'eggye, mu kibuga kya Katonda waffe: Katonda anaakinywezanga emirembe gyonna. (Seera)