Psalms 49:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliraba nti abagezi bafa; omusiru n'omugwagwa nabo nti basaanawo, obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna; nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo; baafuna ettaka mu mannya gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Entaana zaabwe ge maka gaabwe, mwe balisigala ennaku zonna; Ebifo byabwe bya mirembe gyonna; Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Entaana zaabwe ge maka gaabwe bulijjo mwe balisigala ennaku zonna, wadde baalina ettaka lye baayitanga eryabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
lowooza munda ng'ennyumba zaabwe za nnaku zonna, Ebifo byabwe bya mirembe gyonna; Batuuma ensi zaabwe amannya gaabwe bo.