Psalms 49:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti omuntu, si ka bugagga bwe, talisigalawo; afaanana ng'ebisolo ebizikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu, era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eno yenkomerero y'abo abalina obwesige obw'obusirusiru, Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Laba ebituuka ku beesiga eby'obusiru, ne ku abo abasanyukira mu bugagga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekkubo lyabwe eryo bwe busirusiru bwabwe: Naye abantu ababaddirira basiima ebigambo byabwe: (Seera)