Psalms 49:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lino lye kkubo ly'abessaamu obwesige, era ye nkomerero y'abasanyukira mu bye boogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa; olumbe ne lubalya. Bakka butereevu emagombe, obulungi bwabwe ne bubula, amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bateegekeddwa okuttibwa ng'endiga; Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe; Ab'amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya; Emibiri gyabwe tegirirwawo okuvunda, Emagombe ye eriba amaka gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bali ng'endiga ezirundirwa emagombe. Walumbe ye musumba waabwe. Entaana zaabwe balizeesogga, era tebalirwawo kuvunda. Emagombe ye eriba amaka gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bateekerwawo magombe ng'ekisibo; Okufa kunaabeeranga omusumba waabwe: Ab'amazima banaabafuganga obudde bwe bulikya; N'obulungi bwabwe buliba obw'emagombe, okubulya, buleme okubeera n'ekifo eky'okutuulamu.