Psalms 49:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ba kuggweera magombe ng'endiga, olumbe lulibeerundira; balikkirira butereevu emagombe, enfaanana yaabwe erivunda, amagombe ge galiba ekisulo kyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe, ddala ddala alintwala gy’ali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag'emagombe; Kubanga ye alintwala ewuwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Katonda alimponya emagombe, kubanga alinzikiriza mbe wuwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu maanyi ag'emagombe; Kubanga ye alinzikiriza. (Seera)