Psalms 49:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Totyanga ng'olaba omuntu agaggawala, ng'ekitiibwa ky'amaka ge kyeyongera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'alifa talitwala kintu; Ekitiibwa kye tekirikka naye mu ntaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'alifa talibaako ky'atwala. Ekitiibwa kye tekirikka mu ntaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'alifa talitwala kintu: Ekitiibwa kye tekirikka kumugoberera: