Psalms 49:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akamwa kange kanaayogera amagezi; ebinaayogerwa omutima gwange binaawa okutegeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaakozesanga ebikwata ku ngero, nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaakyusa okutu kwange okuwuliriza olugero: Nnaabikkula ekigambo ekitategeerekeka n'ennanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kwetegereza olugero, ndunnyonnyolere ku nnanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okutu kwange naakutegera olugero: Naabikkula ekigambo kyange ekizibu n'ennanga.