Psalms 5:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gubasalire, ayi Katonda, enkwe zaabwe zibasuule; olw'emisango gyabwe emingi, bagobe, kubanga baakujeemera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga; ennaku zonna bayimbenga n’essanyu, obakuumenga, abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bonna abakwesiga ggwe basanyuke, Bayimbenga n'essanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma. N'abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bonna abakwesiga basanyuke, bayimbenga n'essanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma. N'abakwagala basanyukirenga mu ggwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bonna abeesiga ggwe basanyukenga, Bayoogaanenga mu ssanyu bulijjo, kubanga ggwe obakuuma: Era abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.