Psalms 5:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuliriza eddoboozi ly'okuwanjaga kwange, ayi Kabaka wange, ayi Katonda wange, kubanga mpeereza essaala yange gy'oli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange; buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange, ne nnindirira onziremu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, buli nkya onoowuliranga eddoboozi lyange. Buli nkya nnaakusabanga, ne nnindirira ky'onoonziramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku makya owulira eddoboozi lyange. Enjuba ng'evaayo nkusaba, ne nnindirira ky'ononziramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, buli nkya onoowuliraaga eddoboozi lyange; Buli nkya naalongoosanga okusaba kwange gy'oli, ne ntunula.