Psalms 5:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abeekuza tebayinza kuyimirira mu maaso go; okyawa bonna abakola obubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalimba bonna obazikiriza; Mukama akyawa abatemu era n’abalimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ozikiriza aboogera eby'obulimba; Mukama akyawa abantu abatta n'abalimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ozikiriza aboogera eby'obulimba; abatta abantu era n'ab'enkwe, Mukama obakyayira ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olizikiriza aboogera eby'obulimba: Mukama akyawa omuntu atta n'alimbalimba.