Psalms 5:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze, olw'ekisa kyo ekingi, ndiyingira mu Nnyumba yo; ndivunnamira Ekiggwa kyo ekitukuvu nga nkussaamu ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo, olw’abalabe bange, ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama onkulembere nkole by'oyagala, kubanga abalabe bange bangi. Ndaga bulungi ekkubo lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, nnuŋŋamya nkolenga ky'oyagala, kubanga nnina abampalana bangi. Ndaga bulungi ekkubo lyo lye mba nkwata.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ontwale, ai Mukama, mu butuukirivu bwo olw'abalabe bange; Ongololere ekkubo lyo mu maaso gange.