Psalms 5:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, nkulembera mu butuukirivu bwo olw'abalabe bange, ekkubo lyo liruŋŋamye mu maaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa; emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere. Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde: akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa, Balowooza kukola bubi, Emimiro gyabwe ye ntaana eyasaamiridde, Boogera bya bukuusa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa, ekibali ku mutima kwe kukola ebibi. Emimiro gyabwe ye ntaana eyasaamiridde, boogera bya kuwaanawaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tewali bwesigwa mu mimwa gyabwe: Omwoyo gwabwe bubi busa: Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde; Beegonza n'olulimi lwabwe.