Psalms 50:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zabbuli ya Asafu Omuyinza, Katonda, Omukama ayogera, n'ayita ensi okuva enjuba gy'eva okutuuka gy'egenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda, akoowoola ensi okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuyinza wa byonna, Katonda, Mukama, ayogedde, N'ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba. Katonda amasamasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda Omuyinzawaabyonna, Mukama ayogera, ensi yonna n'agiyita okuva enjuba gy'eva okutuusiza ddala gy'egwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda, Katonda, Mukama, ayogedde, N'ayita ensi okuva mu buvanjuba okutuuka mu bugwanjuba. Katonda amasamasizza.