Psalms 50:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino obikola, nze nsirike? Olowooza nti tufaanana? Ka nkulumirize, nkwatulire mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byonna obikoze, ne nsirika, n’olowooza nti twenkanankana. Naye kaakano ka nkunenye, ebisobyo byonna mbikulage.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo wabikola, nange ne nsirika; N'olowooza nga nnenkanankanira ddala naawe: Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Byonna ebyo wabikola ne nsirika, n'olowooza nti ndi nga ggwe. Naye kaakano nkunenya, ne nkulaga bw'okyamye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo wabikola, nange ne nsirika; N'olowooza nga nenkanankanira ddala naawe: Naye ndikunenya, ne mbiteeka mu maaso go.