Psalms 50:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli atambira ekitambiro eky'okwebaza, ampeesa ekitiibwa; n'oyo ali mu kkubo edduŋŋamu ndimwoleka obulokozi bwa Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza, era ateekateeka ekkubo ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aleeta ekitambiro eky'okwebaza anzisaamu ekitiibwa, n'omulungi mu mpisa ze sirirema kumulokola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli ampa ssaddaaka ey'okwebaza angulumiza; Naye alongoosa obulungi ekkubo lye Ndimulaga obulokozi bwa Katonda.