Psalms 51:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsaasira, ayi Katonda, ng'ekisa kyo bwe kiri, olw'okusaasira kwo okungi, sangulawo emisango gyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyonoono byange mbikkiriza, era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga njatula ebyonoono byange; N'ekibi kyange kiri mu maaso gange bulijjo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi nga bwe nayonoona, ndowooza ku kibi kyange bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga njatula ebyonoono byange; N'ekibi kyange kiri mu maaso go bulijjo.