Psalms 51:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti emisango gyange ngimanyi, ekibi kyange kindi awo mu maaso bulijjo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala, nazaalibwa mu kibi; kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, nze nnatondebwa mu bubi; Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nali mu bibi okuva lwe nazaalibwa, nazaalibwa ndi mwonoonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, nze natondebwa mu bubi; Ne mu kwonoona mmange mwe yanzaalira.