Psalms 52:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dowegi ow'e Edomu lwe yagenda ewa Sawulo n'amuloopera nti: “Dawudi ayingidde mu nnyumba ya Akimeleki.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza. Olulimi lwo lwogi nga kkirita era buli kiseera lwogera bya bulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oteekateeka okuzikiriza abalala; Olulimi lwo lulinga akamwano ak'obwogi, ggwe omukozi ow'enkwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oteekateeka okuzikiriza abalala, ebigambo byo biri ng'ekiso ekyogi, bulijjo oyiiya eby'obulimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olulimi lwo luteesa eby'obubi obwereere; Ng'akamwano ak'obwogi, lukola n'obulimba.