Psalms 52:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyagala obubi okusinga ekisa; obulimba okusinga okwogera ekituufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna; alikusikula, akuggye mu maka go; alikugoba mu nsi y’abalamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne Katonda bw'atyo anaakuzikirizanga emirembe gyonna, Alikusitula, alikukwakula, alikuggya mu weema yo, Alikusigula okuva mu nsi ey'abalamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda kyaliva akuzikiriza emirembe gyonna. Alikukwata n'akusika mu nnyumba yo n'akuggya mu nsi y'abalamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne Katonda bw'atyo anaakuzikirizanga emirembe gyonna, Alikusitula, alikukwakula, alikuggya mu weema yo, Alikusigula okuva mu nsi ey'abalamu. (Seera)