Psalms 52:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Katonda oluvannyuma alikuzikiriza emirembe gyonna; alikusigulawo, alikukwakkula mu weema yo, alikusimbula ku nsi y'abalamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mumulabe omusajja ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye, naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi, ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Laba, ye wuuyo omusajja ataafuula Katonda mukuumi we; Naye ne yeesiga obugagga bwe obungi, Nnanoonya obukuumi mu bugagga bwe!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Laba, ono ye ateesiganga Katonda kumukuuma, wabula eyeesiganga obugagga bwe obungi, n'asuubira nti okukola ebibi kulimukuuma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ye wuuyo ataafuula Katonda maanyi ge; Naye ne yeesiga obugagga bwe obungi, Ne yeenyweza mu bubi bwe.