Psalms 52:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wuuyo, omuntu ataafuula Katonda buddukiro bwe, wabula ne yeesiga entuumu y'obugagga bwe; eyafuuka ow'amaanyi ng'ayita mu kuzikiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze. Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi; era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaakwebazanga ennaku zonna, olw'ebyo by'okoze. Era nnaalindiriranga erinnya lyo, kubanga ddungi, mu maaso g'abatukuvu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaakwebazanga bulijjo ayi Katonda, olw'ebyo by'okoze mu maaso g'abatukuvu bo. Nnaayatulanga bulijjo bw'oli omulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naakwebazanga ennaku zonna, kubanga ggwe wakola bw'otyo: Era naalindiriranga erinnya lyo, kubanga ddungi, mu maaso g'abatukuvu bo.