Psalms 53:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda ayima mu ggulu n'atunula wansi ku baana b'abantu, alabe oba mulimu ategeera, anoonya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna bamukubye amabega ne boonooneka; tewali akola kirungi, tewali n’omu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu mu bo azze emabega amuvuddeko; bonna awamu bagwagwawadde; Tewali akola bulungi, tewali n'omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bonna bamuvuddeko. Bonna be bamu: boonoonyi. Tewali n'omu akola kirungi, wadde omu bw'ati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu mu abo azze ennyuma; bonna bagwagwawadde wamu; Tewali akola bulungi, tewali n'omu.