Psalms 53:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna bawabye, bonna wamu boonoonese; tewali akola kirungi, newandibadde omu ati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aboonoonyi tebaliyiga? Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere; so tebakoowoola Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakola obubi tebalina magezi, Abalya abantu bange, nga bwe balya emmere, Era tebasinza Katonda?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakola ebibi tebalina magezi? Bakavvula abantu bange ng'abalya emmere, era tebasinza Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakola obubi tebalina magezi? Abalya abantu bange, nga bwe balya emmere, Ne batakaabira Katonda.