Psalms 53:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakola obubi tebaliyiga, abo abakavvula abantu bange ng'abalya omugaati, abatawanjagira Katonda?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balitya okutya okutagambika; kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be. Baliswazibwa kubanga Katonda yabanyooma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awatali kitiisa we batiira ennyo, okutya okutabangawo! Kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g'abatali batuukirivu; Balikwatibwa ensonyi, kubanga Katonda yabagaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye balitya nnyo, mu ngeri gye baali tebatyangamu, kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g'abo abazingiza abantu be. Olibawangula ne baswala, kubanga Katonda yababoola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awatali kya kutya we batiira ennyo: Kubanga Katonda asaasaanyizza amagumba g'oyo akukolako olusiisira; Obakwasizza ensonyi, kubanga Katonda yabagoba.