Psalms 53:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baabo, batidde ebitatiika, awatali na kitiisa. Kubanga Katonda yasaasaanya amagumba g'abaali bakuzinze; Katonda yabaswaza, kubanga yabanyooma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni, Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be, Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa obulokozi bwa Isiraeri bulabise nga buvudde mu Sayuuni! Katonda bw'alikomyawo abantu be abaanyagibwa, Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa nno oyo aliwonya Yisirayeli alisinziira mu Siyooni! Katonda bw'alizzaawo embeera ennungi mu bantu be, aba Yakobo balisanyuka, Abayisirayeli balijaguza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Singa obulokovu bwa Isiraeri bulabise nga buvudde mu Sayuuni! Katonda bw'alikomyawo abantu be abaanyagibwa, Yakobo n'alyoka asanyuka, Isiraeri alijaguza.