Psalms 54:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda, n'erinnya lyo ndokola; n'amaanyi go, nejjeereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu be simanyi bannumba; abantu abalina ettima abatatya Katonda; bannoonya okunzita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bannamawanga bangolokokeddeko, N'ab'ekyejo banoonyezza emmeeme yange; Tebateeka Katonda mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abeekulumbaza bazze okunnumba, abakambwe baagala okunzita. Tebafa ku Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bannaggwanga bangolokokeddeko, N'ab'ekyejo banoonyezza emmeeme yange: Tebateese Katonda mu maaso gaabwe. (Seera)