Psalms 55:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emisana n'ekiro beetooloola waggulu ku bbugwe waakyo, effutwa n'obulwa bye biri mu kibuga wakati;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo. Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwonoona kuli wakati mu kyo; Okujooga n'obukuusa tebiva mu nguudo zaakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Boonoona ebintu mu kibuga, enguudo zaakyo tezibulamu bya kulumya bantu na bya bukuusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwonoona kuli wakati mu kyo: Okujooga n'obukuusa tebiva mu nguudo zaakyo.