Psalms 55:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa omulabe y'anvumye, nandikigumiikirizza, singa oyo ankyawa y'ansitukiddemu, nandimwekwese.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe munnange, bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wabula ggwe, muntu munnange, Eyatambulanga nange, mukwano gwange gwe nnamanyiira ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye akola ekyo ye ggwe munnange, mukwano gwange bwe tuyita.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wabula ggwe, muntu munnange, Eyatambula nange, mukwano gwange gwe namanyiira ennyo.