Psalms 55:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe tweyagaliranga mu kinywi kyaffe, bwe twatambulanga awamu okugenda mu nnyumba ya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okufa kubatuukirire, bakke emagombe nga bakyali balamu; kubanga bajjudde okukola ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okufa kubatuukeko nga tebalowooza, Bakke mu bunnya nga bakyali balamu; Kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okufa kutuuke ku balabe bange nga tebakulindiridde. Bakke emagombe nga bakyali balamu, kubanga ekibi kiri mu maka gaabwe ne mu mitima gyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okufa kubatuukeko nga tebalowooza, Bakke mu bunnya nga bakyali balamu: Kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati.