Psalms 55:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olumbe lubagwire kibwatukira, bakkirire mu magombe nga balamu, kubanga obwonoonefu buli mu bo, mu bisulo byabwe ne mu mitima gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nze nkoowoola Mukama Katonda, n’andokola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze naakaabiriranga Katonda; Era Mukama anandokolanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze mpita Katonda annyambe, Mukama ajja kundokola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze naakaabiriranga Katonda; Era Mukama anandokolanga.