Psalms 55:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu alumbagana munne; atyoboola endagaano ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo, so nga mu mutima gwe alowooza lutalo; ebigambo bye biweweera okusinga amafuta, so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwogera kwe kwali kugonvu ng'omuzigo, So nga olutalo lwali mu mutima gwe; Ebigambo bye byagonda okusinga amafuta, So nga byali bitala ebisowoddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigambo bye byali bigonvu okusinga omuzigo, naye byali bitala ebyogi, nga ky'alina mu mutima gwe, lwe lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akamwa ke kaali kagonvu ng'omuzigo, Naye omutima gwe kulwana: Ebigambo bye byagonda okusinga amafuta, Naye byali bitala ebisowoddwamu.