Psalms 55:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akamwa ke kagonvu okukira omuzigo, naye mu mutima gwe ntalo nsa; ebigambo bye biweweevu okukira amafuta, sso nga bye biso ebisowole.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama, ajja kukuwanirira; kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Teekanga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga; Taaganyenga abatuukirivu okuwangulwa ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebizibu byo bikwasenga Mukama, anaakuyambanga. Taalekenga bantu beesigwa kuwangulwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gussenga omugugu gwo ku Mukama, naye anaakuwaniriranga: Taaganyenga abatuukirivu okujjulukuka ennaku zonna.