Psalms 55:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebikweraliikiriza byonna bikasukire Omukama, ajja kukuwanirira, emirembe gyonna talireka mutuukirivu kusagaasagana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe, Ayi Katonda, olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira; era abatemu n’abalimba bonna tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe. Naye nze, neesiga ggwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe, Ayi Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira; Abantu abaagala omusaayi n'abo abalimba olibasuula mu ntaana ng'emyaka gye bandiwangadde tebanagituusa na wakati; Naye nze nneesiganga ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe ayi Mukama, abantu abatemu n'abalimba olibasuula mu ntaana ng'emyaka gye bandiwangadde tebannagituusa na wakati. Naye nze nnaakwesiganga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe, ai Katonda, olibassa mu bunnya obw'okuzikirira: Abantu abaagala omusaayi n'ab'obulimba tebalimala kitundu kya nnaku zaabwe; Naye nze neesiganga ggwe.