Psalms 55:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nandyanguye okwezuulira we neewogoma kikuŋŋunta n'omuyaga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe; kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bazikirize, Ayi Mukama, oyawule ennimi zaabwe; Kubanga ndabye ettima n'okuyomba mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, zikiriza olulimi lwabwe, otabuletabule bye boogera, kubanga ndaba eby'obukambwe n'okuyombagana mu kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bazikirize, ai Mukama, oyawule ennimi zaabwe: Kubanga ndabye ettima n'okuyomba mu kibuga.