Psalms 56:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri omuyimbisa. Lugenda nga 'Ejjiba ku Mivule egy'ewala'. Ya Dawudi. Mikutamu. Abafilisitiini ab'e Gati lwe baali bamukutte.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya; buli lunaku bannumba n’amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Onsaasire, Ayi Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze; Bazibya obudde nga balwana, nga banjooga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkwatirwa ekisa ayi Katonda, kubanga abantu bannumba. Abalabe banjigganya olunaku lwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onsaasire, ai Katonda; kubanga abantu baagala okummira nze: Bazibya obudde nga balwana nga banjooga.